Isaiah 8

Mukama Akozesa Bwasuli Okubonereza Isirayiri

1 aAwo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene okiwandiikeko n’ekkalaamu nti: Kya Makerusalalukasubazi.” 2 bNe ndyoka neeyitira abajulirwa abeesigwa, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.

3Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. Mukama Katonda n’alyoka agamba nti, “Mmutuume erinnya Makerusalalukasubazi. 4 cKubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.”

5 Mukama Katonda n’addamu n’ayogera nange nti,

6 d“Kubanga abantu bano bagaanye
amazzi g’e Sirowa agakulukuta empolampola,
Amazzi agoogerebwako wano ge mazzi agava mu Gikoni (2By 32:4-30) agakozesebwa wakati mu kibuga Yerusaalemi

ne bajaguza olwa Lezini
ne mutabani wa Lemaliya,
7 fkale nno Mukama anaatera okubaleetako
amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu,
ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna;
galisukka ensalosalo zonna,
ne ganjaala ku ttale lyonna.
8 gEra galyeyongera ne ganjaala mu Yuda,
galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago,
n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo,
ggwe Emmanweri.”

9 hMuyimbe ennyimba z’entalo mmwe amawanga naye mwekaabire.
Mutege amatu mmwe mwenna ab’ensi ezeewala;
mwenyweze naye mwekaabire;
mwenyweze naye mwekaabire.
10 iMuteese enkola yammwe, naye yakugwa butaka,
mwogere ekigambo naye tekirituukirira.
11 jKubanga Mukama Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti,

12 k“Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe,
temubiyita nkwe,
era temutya bye batya,
wadde okutekemuka
Abantu bwe baawulira nti waliwo omukago wakati wa Isirayiri ne Bwasuli, ne batya nnyo.
omutima.
13 mNaye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu,
nze gwe muba mutya,
era gwe muba mwekengera.
14 nOlw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri
aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa,
era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.
15 oEra bangi abaliryesittalako,
bagwe, bamenyeke,
bategebwe bakwatibwe.”

16 pNyweza obujulirwa
okakase amateeka mu bayigirizwa bange.
17 qNange nnaalindirira Mukama Katonda
akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo,
mmunoonye n’essuubi.
18 rLaba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni.

19 sAbantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu? 20 tTudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera. 21 uEra baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe. 22 vEra bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.

Copyright information for LugEEEE